Romans 11:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weewaawo okusinziira ku Vangili balabe ba Katonda olw'okubeera mmwe; naye okusinziira ku kulondebwa kwabwe, bakyali baganzi olw'okubeera bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusinziira mu Njiri, be balabe ba Katonda ku lwammwe; naye okusinziira mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bo, mu bikwata ku Mawulire Amalungi, baba balabe ba Katonda, mmwe mulyoke mugasibwe. Naye mu bikwata ku kulondebwamu, baba baagalwa ba Katonda olwa bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu njiri, be balabe ku lwammwe: naye mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajja.