Romans 11:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda bw'agaba oba bw'ayita, teyejjusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda bw'agabira abantu oba bw'abayita, teyejjusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa.