Romans 11:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ayi Mukama, abalanzi bo babasse, emyaliiro gyo bagisimbuddewo; nze nzekka nze nsigaddewo, ate nange bannoonya okunzita.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya n’ebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama, basse bannabbi bo, ne baazikiriza ebyoto byo, era nze nsigaddewo nzekka, era banoonya obulamu bwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama, batta abalanzi bo, ne boonoona ebifo byo eby'ebitambiro. Nze nzekka nze nsigaddewo, era nange banoonya okunzita.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, batta bannabbi bo, ne basuula ebyoto byo: nange nfisseewo nzekka, era banoonya obulamu bwange.