Romans 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe guli na kati; waliwo abaasigalawo, eneema be yeeroboza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olw’ekisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe kityo era ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyafikkawo abaalondebwa olw'ekisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe kiri ne mu biseera bino. Waliwo abasigaddewo, abaalondebwamu olw'ekisa kya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe kityo era ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyafikkawo mu kulonda okw'ekisa.