Romans 11:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba nno neema, awo nno sibaalobozebwa lwa bikolwa, kubanga olwo eneema teyandibadde neema n'akamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obanga lwa kisa, si lwa bikolwa nate, kubanga ekisa kyandibadde tekikyali kisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe kibanga lwa kisa, olwo kiba nti si lwa bikolwa; kuba olwo ekisa kiba tekikyali kisa nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yabalondamu lwa kisa kye, si lw'ebyo bye baakola. Singa yabalondamu lw'ebyo bye baakola, ekisa kye kyandibadde tekikyali kisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba nga lwa kisa, si lwa bikolwa nate: oba nga si bwe kityo, ekisa si kisa nate.