Romans 11:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno kiki? Yisirayeli yalemwa okufuna kye yali agoba; abalondemu be bakifunye; abasigaddewo baaguguba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale tugambe ki? Abayisirayiri baalemwa okufuna kye baali banoonya, wabula be yalondamu be baakifuna, abalala ne bakakanyazibwa, emitima,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tukole tutya? Isiraeri yalemwa okufuna kye yali anoonya, abaalondebwa baakiraba, ate abalala ne bakakanyazibwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tugambe tutya? Abayisirayeli baalemwa okufuna ekyo kye baali banoonya. Abatono abalondemu be baakifuna. Naye abalala emitima gyabwe gyakakanyazibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale tukole tutya? Isiraeri kye yanoonya, teyakiraba; naye abaalondebwa baakiraba, abalala ne bakakanyazibwa: