Romans 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Katonda yabawa omwoyo gw'otulo otungi, amaaso agataalabe, n'amatu agataawulire n'okutuusa ku lunaku luno olwa leero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota, n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba, n’amatu gaabwe obutawulira okutuusa leero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Katonda yabawa omwoyo ogw'okubongoota, amaaso ag'obutalaba, n'amatu ag'obutawulira, okutuusa ku lunaku lwa leero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Katonda yabawa omwoyo ogutaliimu magezi. Yabawa amaaso agatalaba, n'amatu agatawulira okutuusa ku lunaku lwaleero.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe kyawandiikibwa nti Katonda yabawa omwoyo ogw'okubongoota, amaaso ag'obutalaba, n'amatu ag'obutawulira, okutuusa ku lunaku lwa leero.