Romans 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mwagalane n'okwagala kw'ab'oluganda, musiŋŋane mu kuwaŋŋana ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwagalanenga n'okwagala okw'ab'oluganda; nga musukirira mu kuwaŋŋana ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwagalanenga ng'abooluganda. Buli omu anyiikirirenga okuwa munne ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka ne mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne;