Romans 12:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu asse kimu ne munne, temwewanika, mukolagane n'abanaku, temweragaalaga bugezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubeerenga mu mirembe mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mukolaganenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mussenga kimu mwenna. Temwekulumbazanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka.