Romans 12:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibi nga kibaddewo, temukisasuzangamu kibi, wabula omwoyo mugusse ku ekyo ekirungi eri buli muntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga okukola ebirungi mu maaso g'abantu bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'akolanga ekibalumya, mmwe temwesasuzanga. Mukolenga ekyo abantu bonna kye balaba nga kye kirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna.