Romans 12:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, temuwooleranga ggwanga, wabula mubirekere obusungu bwa Katonda; anti kyawandiikibwa nti: “Okuwoolera eggwanga kyange, nzija kusasula,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu; kubanga kyawandiikibwa nti, “Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye mulekenga Katonda ye abanga awoolera eggwanga. Mu byawandiikibwa, Mukama agamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.