Romans 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleme kuyisa ng'ensi eno bw'eyisa; mufuuke nga muzza buggya emitima gyammwe, lwe munaakakasa Katonda ky'ayagala, ekirungi, ekisaana, ekituufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mutegeere ebyo Katonda by'ayagala, ebirungi, ebisanyusa era ebituufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empisa zammwe mulemenga kuzifaananya n'ez'abantu ab'ensi, wabula mukyuke, mufune endowooza empya, mulyoke musobole okumanya ebyo Katonda by'ayagala: ebirungi, ebisanyusa, era ebituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu.