Romans 12:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe omulabe wo nga muyala, muwe ekyokulya; nga muyonta, muwe ekyokunywa. Bw'okola bw'otyo olituumira ku mutwe gwe amanda agengeredde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye “omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, muwenga eky'okunywa; kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, era ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba: “Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga ekyokulya n'alya, era bw'alumwanga ennyonta omuwanga ekyokunywa n'anywa. Bw'okola bw'otyo, olimuleetera okuwulira ennyo ensonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.