Romans 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'eneema gye nafuna, ŋŋamba buli omu mu mmwe, aleme kwewanika okusinga bw'ali, wabula alowooze ku kubeera omwegendereza, buli omu ng'alabira ku kukkiriza Katonda kwe yamupimira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'ekisa kye nnaweebwa, mbeegayirira buli omu ku mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'ekisa Katonda kye yankwatirwa, ŋŋamba buli omu mu mmwe nti tasaanidde kwerowoozaako kiyitiridde, wabula yeerowoozengako mu ngeri esaanira, era yeekeberenga okusinziira ku kipimo ky'okukkiriza, Katonda kwe yamuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga njogera, olw'ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza.