Romans 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naffe bwe tuli, yadde tuli bangi, naye ffenna tuli mubiri gumu mu Kristu, ate buli kinnoomu abeera bitundu bya munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naffe bwe tutyo bwe tuli. Newaakubadde tuli bangi, naye tuli omubiri gumu mu Kristo, era tugattibwa wamu ng'ebitundu eby'omubiri ogumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka.