Romans 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe tulina ebitone ebyawufu ng'ogerera ku neema eyatuweebwa, tubyeyambe: Oba bulanzi, okusinziira ng'oli bw'akkiriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe tulina ebirabo ebitenkanankana ng'ekisa kye twaweebwa bwe kiri, tubikozesenga bwe tutyo, oba bunnabbi, tubuulirenga mu kigera ky'okukkiriza kwaffe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tukozesenga ebirabo bye tulina ebyenjawulo, okusinziira ku kisa Katonda kye yatukwatirwa. Bwe kiba ekirabo eky'okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, tukibategeezenga ng'okukkiriza kwaffe bwe kuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nga bwe tulina ebitenkanankana ng'ekisa kye twawebwa bwe kiri, oba bunabbi (tubuulirenga) mu kigera ky'okukiriza kwaffe;