Romans 13:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwagala tekukolera munno bubi; okwagala nno kyekuva kubeera okutuukiriza Etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwagala tekukola bubi muntu munne; okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alina okwagala, takola muntu munne kabi. N'olwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza Amateeka gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwagala tekukola bubi muntu munne: okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.