Romans 13:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutegeere bulungi obudde buno; kaakati ke kaseera okuva mu tulo; anti okulokoka kuli kumpi naffe okusinga luli nga twakakkiriza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mukolenga bwe mutyo, kubanga mumanyi ebiro, ng'obudde butuuse kaakano mmwe okuzuukuka mu tulo; kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga we twakkiririza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ebyo nga bikyali awo, mumanyi nti kino kye kiseera, essaawa etuuse, mmwe okuzuukuka mu tulo, kubanga kaakano okulokolebwa kwaffe kuli kumpi okusinga we twatandikira okukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mukolenga bwe mutyo, kubanga mumanyi ebiro, ng'obudde butuuse kaakano mmwe okuzuukuka mu tulo: kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga bwe twakkiriza.