Romans 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula mwambale Mukama Yezu Kristu; muleme kumalira birowoozo ku mubiri nga munoonya bwe munaamatiza amaddu gaagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mwambale Mukama Yesu Kristo, mulemenga kuwa mubiri bbeetu okukolanga bye gwegomba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba.