Romans 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno awaganyalira abali mu buyinza awaganyalira Katonda kye yassaawo, era abo abawaganyala balisalirwa omusango okubasinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda, era ababawakanya balyereetaako omusango bo bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo ajeemera abafuzi, aba ajeemedde abo Katonda be yateekawo. Era abajeema, balyereetera omusango,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda: era abawakana balyezzaako omusango bo bokka.