Romans 13:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafuzi tebatiisa bantu balungi, wabula ababi. Oyagala obutatya ali mu buyinza? Kola bulungi, ajja kukusiima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wa buyinza, kola bulungi osiimibwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abafuga si ba kutiisa abo abakola ebirungi, wabula abo abakola ebibi. Era oyagala obutatya mukulu? Kola bulungi, alikusiima,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga abafuzi tebaba ba kutiisa abo abakola obulungi, wabula abo abakola obubi. Oyagala obutatiisibwa mufuzi? Kale kola bulungi, olwo ajja kukusiima,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abafuga si ba kutiisa mu kikolwa ekirungi, wabula mu kibi: Era oyagala obutatya bukulu? kola bulungi, alikusiima: