Romans 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti muweereza wa Katonda olw'obulungi bwo. Naye bw'okola obubi, tya, kubanga ekitala takutte kya busa. Anti muweereza wa Katonda okulaga obusungu bwe ku oyo akola obubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga muweereza wa Katonda ku lw’obulungi bwo. Naye bw’onookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala ky’alina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga takwatira bwereere kitala; kubanga ye muweereza wa Katonda, awalana obusungu bwe ku oyo akola obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ye muweereza wa Katonda ku lw'obulungi bwo. Naye bw'okola obubi tya, kubanga obuyinza bw'alina si bwa bwereere. Ye muweereza wa Katonda, era ye abonereza abakola obubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga takwatira kitala bwereere: kubanga ye muweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubi.