Romans 13:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno muteekwa okuwulira si lwa kutya busungu, naye olw'okubeera emmeeme yammwe ky'egamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye n’olw’okumanya nga kye kituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa kwewala busungu bwa Katonda bwokka, naye era ne ku lw'omwoyo gwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo musaanidde okuba abawulize, si lwa kutya kubonerezebwa kwokka, naye n'olw'obulungi bw'emyoyo gyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye era ku lw'omwoyo gwammwe.