Romans 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna mubawe kye balina okuweebwa: ow'omusolo, musolo; ow'empooza, mpooza; ow'ekitiibwa, kitiibwa; ow'obukulu, bukulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musasulenga bonna amabanja gaabwe, ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; n'ab'ekitiibwa kitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bonna mubawenga bye muteekwa okubawa: asolooza omusolo mugumuwe, asolooza empooza mugimuwe, ateekwa okutiibwa mumutye, n'oweekitiibwa mukimuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; ab'ekitiibwa kitiibwa.