Romans 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti ebiragiro: Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Teweegombanga. Oba waliyo mpozzi n'ekiragiro ekirala, byonna bifunzibwa mu kiragiro kimu kino: “Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti, “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiragiro bino: “Toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, tobeeranga na kwegomba kubi”, n'ebiragiro ebirala, byonna bigattiddwa mu kimu ekigamba nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kino nti Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga, n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.