Romans 14:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omunafu mu kukkiriza mumwanirize, naye si lwa kukaayana ku ndowooza zammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye temumusalira musango olw'ensonga ezibuusibwabuusibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atali munywevu mu kukkiriza temumugobaganyanga, naye era temuwakananga naye ku ebyo by'abuusabuusaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye si lwa kusala musango gwa mpaka.