Romans 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale ggwe lwaki olamula muganda wo? Ate ggwe, lwaki onyooma muganda wo? Anti ffenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ya Katonda ey'obulamuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda, ey’okulamula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe kiki ekikusaliza omusango muganda wo? Oba naawe kiki ekikunyoomesa muganda wo? Kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ggwe, lwaki onenya muganda wo? Oba ggwe, lwaki onyooma muganda wo? Ffenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ya Katonda kw'asalira emisango,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe kiki ekikusaliza omusango muganda wo? oba naawe kiki ekikunyoomesa muganda wo? kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda.