Romans 14:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti kyawandiikibwa nti: “Mazima nga nze ndi mulamu, Omukama y'agamba, buli vviivi lirinfukaamirira, na buli lulimi lulitenda Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulitendereza Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga kyawandiikibwa nti: “Mukama agamba nti: nga bwe ndi omulamu, buli muntu alinfukaamirira. Era buli muntu alintendereza nze Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyawandiikibwa nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulyatula Katonda.