Romans 14:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno tulekere awo eby'ono okulamula oli, wabula tusalewo kino: obutateerawo muganda wo kimwesitazza oba kimusuula mu kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka, naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba enkonge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tulekere awo okunenyagananga, naye mumalirire obutaleetawo kyesittaza wa luganda oba ekimusuula mu kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka: naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba nkonge.