Romans 14:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba muganda wo akosebwa olw'emmere gy'olya, oba tokyatambulira mu kwagalana. Toleka mmere yo kuzikiriza oli Kristu gwe yafiirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba oba nga muganda wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'onakuwaza muganda wo olw'emmere gy'olya, oba tokyafugibwa kwagalana. Oyo Kristo gwe yafiirira tomulekanga kuzikirira olw'ekyo ky'olya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba nga muganda wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira.