Romans 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu akkiririza mu kulya byonna, naye omunafu alya nva zokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulala akkiriza n'okulya n'alya byonna, naye atali munywevu alya nva zokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo akkiriza nti ayinza okulya buli ekiriibwa. Naye atali munywevu mu kukkiriza, alekerayo ddala okulya ennyama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulala akkiriza n'okulya n'alya byonna: naye atali munywevu alya nva.