Romans 14:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kirungi obutalya nnyama, obutanywa mwenge oba ekirala kyonna muganda wo ky'ayinza okwesittalako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesittazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kirungi obutalyanga nnyama, newaakubadde okunywanga omwenge, wadde okukolanga ekirala kyonna ekyesittaza muganda wo [oba ekimunyiiza oba ekimunafuya].
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesitazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya.