Romans 14:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe obumativu bw'olina bukuumire wakati wo ne Katonda wo. Yeesiimye oyo atalinaamu kamukyekeera olw'ekyo kye yasiima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ky’okkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo ky’alowooza nga kituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'akakasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe ky'okkiriza, kikuumenga nga kimanyiddwa ggwe ne Katonda. Wa mukisa ateesalira musango kumusinga mu ebyo by'alowooza okuba ebituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'asiima.