Romans 14:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alimu okubuusabuusa bw'alya, gumusinga, kubanga teyabadde mumativu ku ky'akola, kubanga kyonna ekitava mu bumativu kiba kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oyo abuusabuusa bw’alya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oyo abuusabuusa azza omusango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka oyo abuusabuusa, bw'alya azza musango, kubanga akola ekyo omutima gwe kye gutakkiriza. Era buli ekitava mu kukkiriza, kiba kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyo abuusabuusa azza musango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi.