Romans 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo alya aleme kunyooma atalya, n'oyo atalya aleme kulamula alya, anti naye Katonda yamwaniriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu asalawo okubaako ky’alya tanyoomanga atakirya, n’oyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya, kubanga Katonda yamusembeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo alya buli ekiriibwa alemenga kunyooma oyo atakirya. N'oyo atakirya, tanenyanga oyo akirya, kubanga Katonda teyamwegobaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya: kubanga Katonda yamusembeza.