Romans 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe ani okulamula omuweereza w'omulala? Oba ayimirira, oba agwa, ebyo bya mukama we; ajja kuyimirira, kubanga Omukama asobola okumuyimiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? Eri mukama we yokka gyayinza okuyimiririra oba okugwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe ani anenya omuweereza w'omulala? Mukama we ye asalawo oba akola bulungi oba akola bubi. Era ajja kukola bulungi, kubanga Mukama ye amusobozesa okuyimirirawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? eri mukama we yekka ayimirira oba agwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza.