Romans 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu mu nnaku ayawulamu olw'enkizo, omulala zonna zimufaananira. Buli muntu abeere nga bwe yamatira mu mutima gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omu agulumiza olunaku olumu okusinga olulala, naye omulala n’alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Noolwekyo buli muntu anywererenga ku ky’alowooza bwe kiba nga kye kituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu alowooza olunaku olumu okusinga olulala obukulu, omulala alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Buli muntu anywererenga ku ky'alowooza okuba ekituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka.