Romans 14:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli akuza olunaku, alukuza ku lwa Mukama; n'oli alya, alya ku lwa Mukama, kubanga yeebaza Katonda; n'oli alekayo okulya, alekayo ku lwa Mukama, naye yeebaza Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. N’oyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe; n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga yeebaza Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waffe, era yeebaza Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo akuza olunaku, akikola lwa kuwa Mukama kitiibwa. N'oyo alya buli ekiriibwa, akirya lwa kuwa Mukama kitiibwa, kubanga yeebaza Katonda. Era n'oyo atakirya, akireka lwa kuwa Mukama kitiibwa, era yeebaza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe: n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga yeebaza Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waffe, era yeebaza Katonda.