Romans 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba tuli balamu, tuli balamu ku lwa Mukama; oba tufa, tufa ku lwa Mukama. Awo nno oba tuli balamu, oba tufudde, tuli ba Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe; oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe, kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama. Era bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. N'olwekyo oba tuba balamu oba tufa, tuba ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe: oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe: kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe.