Romans 15:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate era ne Yisaaya n'agamba nti: “Ekikolo kya Yesse kirijja, oyo alisituka okufuga amawanga, mu ye amawanga mwe galisuubira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti, “Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja era alisituka okufuga Abaamawanga, era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate Isaaya ayogera nti, “Waliba ekikolo kya Yese, Era ayimirira okufuga ab'amawanga; Mu ye mwe mulibeera essuubi ly'ab'amawanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne Yisaaya agamba nti: “Omuzzukulu wa Yesse alijja, alisituka okufuga ab'amawanga amalala. Era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Isaaya ayogera nti Waliba ekikolo kya Yese, Era ayimirira okufuga ab'amawanga; Oyo ab'amawanga gwe balisuubira.