Romans 15:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganda bange, nange nzennyini ndi mumativu ku mmwe, nti mubugaanye obulungi, mujjudde okumanya kwonna era musobola okubuuliragana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era matidde baganda bange, nze kennyini, nga nammwe bennyini mujjudde obulungi, nga mujjudde okutegeera kwonna, era nga muyinza okubuuliriragana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragananga mwekka na mwekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda bange, nange nze nnyini nkakasiza ddala nti mmwe mujjudde empisa ennungi, mulina okumanya okujjuvu, era muyinza okubuuliriragana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragana mwekka na mwekka.