Romans 15:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okubeera omuweereza w'ebitukuvu owa Kristu Yezu mu b'amawanga, mpeereze ekitambiro ky'Evangili ya Katonda, ab'amawanga bafuuke ekitone ekisiimibwa, Mwoyo Mutuukirivu ky'atukuzizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga nze ndi muweereza wa Kristo Yesu eri Abaamawanga, nga nkola obuweereza obutukuvu nga mbulira Enjiri ya Katonda, ekiweebwayo ky’Abaamawanga kiryoke kikkirizibwe, nga kitukuzibbwa Mwoyo Mutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga mpereeza mu bwa kabona Enjiri ya Katonda, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'etukuzibwa Omwoyo Omutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ampa okuba omuweereza wa Kristo Yesu nga nkolera mu b'amawanga amalala. Nkola omulimu ogw'obwakabona, nga ntegeeza abantu Amawulire Amalungi agava eri Katonda, ab'amawanga amalala balyoke babe ekirabo Katonda ky'asiima, nga kitukuziddwa Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga nkolera enjiri ya Katonda omulimu gwa kabona, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'ekuzibwa Omwoyo Omutukuvu.