Romans 15:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu maanyi g'obubonero n'ebyewuunyo, mu maanyi ga Mwoyo Mutuukirivu; leero okuviira ddala e Yeruzaalemu n'okutuukira ddala okwetooloola Yilliriko, wonna nabunyaayo Evangili ya Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mu maanyi ag’obubonero n’eby’amagero, ne mu maanyi ag’Omwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi n’okwetooloola okutuuka mu Iruliko, mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mu maanyi g'obubonero n'eby'amagero, mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, n'abuulira Enjiri ya Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mu maanyi g'ebyewuunyo n'ebyamagero, ne mu maanyi ga Mwoyo Mutuukirivu. Bwe ntyo okuviira ddala e Yerusaalemu n'okwetooloola okutuuka mu Yilliriko, nategeeza abantu Amawulire Amalungi agafa ku Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu maanyi g'obubonero n’eby'amagero, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, natuukiriza enjiri Kristo;