Romans 15:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nfuba bwe ntyo Evangili eno okugiyigiriza, naye nga siyigiriza gye baamala edda okuwulira ku Kristu, nneme kuzimbira ku ntandikwa ya mulala, wabula nga bwe kyawandiikibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nduubirira okubuulira Enjiri mu bifo etayatulwanga linnya lya Kristo, nneme okuzimba ku musingi gw’omuntu omulala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwentyo nduubirira okubuuliranga Enjiri, awo erinnya lya Kristo we litayogerwangako, nnemenga okuzimba ku musingi gw'omuntu omulala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye nduubirira bulijjo, kwe kutegeeza abantu Amawulire Amalungi mu bifo ebyo erinnya lya Kristo gye litawulirwangako, nnemenga okuzimba ku musingi gw'omuntu omulala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nga njagala ekitiibwa kino okubuuliranga enjiri, si awayatulibwa erinnya lya Kristo nnemenga okuzimba ku musingi gwa beene;