Romans 15:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati mu bitundu bino nga bwe sikyalinamu kifo, ate nga n'emyaka giigino mingi nga neegomba okujja ewammwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye kaakano nga bwe sikyalina kifo mu bitundu by’eno, ate nga maze emyaka mingi nga njagala okujja gye muli, nsubira okujjayo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye kaakati, kubanga sikyalina kitundu kya kukoleramu mu nsi zino, era kubanga okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano nga bwe mmalirizza omulimu gwange mu bitundu bino, era nga bwe mmaze emyaka emingi nga njagala okujja okubalaba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye kaakati, kubanga sikyalina bbanga mu nsi zino, era kubanga, okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli,