Romans 15:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe ndiba ndaga mu Sipaniya, nsuubira okuyita ewammwe mbalabeko; bwe ndimala okubeerako nammwe ne tusanyukamu akabanga, mulimperekerako okweyongerayo eri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe ndiba nga ndaga mu Esupaniya. Kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, n’oluvannyuma munnyambe okuva eyo ndyoke ntuukirize ekitundu ekisooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nsuubira okubalabako nga ŋŋenda mu Esupaniya, era n'okunyamba mu lugendo olwo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bwe ndiba ŋŋenda mu Sipaniya, nsuubira okuyitirako eyo ewammwe mbalabeko okumala ennaku eziwerako. Bwe ndimala okusanyukirako awamu nammwe, njagala munnyambe okutuuka mu Spaniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
we ndigendera mu Esupaniya (kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, mmwe mumperekereko okuntuusa eyo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe);