Romans 15:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baalaba nga kisaana, era ggwe wamma babalinako ebbanja, kubanga ab'amawanga kati nabo baagabanye ku birungi eby'omwoyo bye balina, awo nno bano nabo balagirwa okubayamba mu by'omubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baasanyuka era balina ebbanja gye bali, kubanga ng’Abaamawanga bwe baagabana ku bintu eby’omwoyo okuva gye bali, n’Abaamawanga nabo basaanye okubaweereza mu bintu eby’omubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baasiima okukikola; era ddala balina ebbanja gyebali, kuba oba ng'ab'amawanga bagabana ku mikisa gy'Abayudaaya egy'omwoyo, nabo basaana okugabana nabo ebintu eby'omubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo be baakyesiimira okukikola. Naye era balina ebbanja okuyamba abaavu abo, kubanga ab'amawanga amalala baagabana ku birungi eby'omwoyo eby'Abayudaaya, n'olwekyo basaana nabo okuyamba Abayudaaya mu by'omubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga basiima; era nga bababanja. Kuba oba ng'ab'amawanga basseekimu n'ebyabwe eby'omwoyo, babanja okubaweereza nate eby'omubiri.