Romans 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Kristu teyeesanyusa yekka, naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebivumo by'abakuvuma byagwa ku nze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebivume by’abo abaakuvuma byagwa ku nze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka; naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti, “Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Kristo teyeerowoozaako yekka, wabula, nga bwe kyawandiikibwa, “Abantu bye baakuvuma byadda ku nze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka: naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.