Romans 15:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, abooluganda, mbeegayiridde ku lwa Mukama waffe Yezu Kristu n'olw'okwagala kwa Mwoyo Mutuukirivu, munyiikire wamu nange okwegayirira Katonda nga munsabira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mbakuutira abooluganda, mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kw’Omwoyo, okufubiranga awamu nange, nga munsabira eri Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, mbeegayiridde ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kwa Mwoyo Mutuukirivu, munyiikirire wamu nange okunsabira eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda;