Romans 15:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ab'amawanga batendereze Katonda olw'ekisa kye, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Kyendiva nkugulumiza mu mawanga, ndiyimbira erinnya lyo ettendo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga, era ne ntendereza erinnya lyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Kyenaavanga nkutendereza mu b'amawanga, Era nnaayimbanga ku linnya lyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era n'okusobozesa ab'amawanga amalala okutendereza Katonda olw'okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Kyennaavanga nkutendereza mu b'amawanga amalala, ne nnyimba nga ntenda erinnya lyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti Kye nnaavanga nkwatula mu b'amawanga, Era nnaayimbiranga erinnya lyo.